Job 12

Yobu Ayanukula

1Awo Yobu n’amuddamu nti,

2 a“Awatali kubuusabuusa muli bantu.
Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa.
3 bNaye nange nnina amagezi ntegeera,
temunsinga.
Ani atabimanyi ebyo byonna?
4 cNfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange.
Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu,
ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!
5Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana,
ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu.
6 dWeema z’abanyazi tezibaako mutawaana,
era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe
abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.
7Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza,
oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira.
8Oba yogera n’ettaka linaakusomesa
oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola.
9 eBiki ku bino ebitamanyi nti,
omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?
10 fBuli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe,
na buli mukka ogussibwa abantu bonna.
11 gOkutu tekugezesa bigambo
ng’olulimi bwe lukomba ku mmere?
12 hAmagezi tegasangibwa mu bakaddiye?
Okuwangaala tekuleeta kutegeera?
13 iKatonda y’alina amagezi n’amaanyi;
y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera.
14 jKy’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba;
ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa.
15 kBw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja,
bw’agata gazikiriza ensi.
16 lYe, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi,
abalimba n’abalimbibwa bonna babe.
17 mAggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu,
abalamuzi n’abafuula abasirusiru.
18 nBakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe,
n’abasibamu obukete.
Obukete bwe bugoye bwokka abaddu abawambe bwe bakkirizibwanga okwambala.

19 pBakabona abatwala nga tebalina kantu,
n’asuula abasajja abaanywera.
20 qAziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa,
era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde.
21Ayiwa ekivume ku bakungu,
era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi.
22 rAbikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza,
n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala.
23 sAfuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza;
agaziya amawanga n’agasaasaanya.
24 tAbakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde;
n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo.
25 uBawammantira mu kizikiza awatali kitangaala;
abaleetera okutagala ng’abatamiivu.”
Copyright information for LugEEEE